20.4 C
Kampala
February 12, 2025
National NewsSports

Minisitule Y’abavubuka, Emizannyo N’ebitone, Mubwakabaka Bwa Buganda Efulumizza Enteekateeka Kwebanaatambulira Omwaka Guno.

Enteekateeka eno eyanjuddwa Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone, Oweek Ssaalongo Sserwanga Robert, mu nsisinkano n’abatwala eby’emizannyo mu Bwakabaka, abaami ba Kabaka, abakulembeze b’Abavubuka mu Masaza ne bannabyamizannyo.

Minisita Sserwanga asinzidde wano naasaba bannamikago okukolera awamu n’Obwakabaka okutumbula embeera z’abavubuka nga beesigama ku nteekateeka eno.

Oweek Sserwanga ayagala buli muvubuka yenna mu Buganda abeeko kyakola nga agoberera ennambika y’omwaka eyabavubuka. Empaka z’emizannyo ku maggombolola zitandika 27 omwezi guno.

Ensisinkano ebadde ku Bulange nga yeetabiddwamu, Ssentebe w’empaka z’Amasaza Hajji Sulaiman Ssejjengo, Oweek Hajji Katambala Sulaiman Magala akulira empaka z’Ebika, abakiise b’abavubuka mu lukiiko lwa Buganda, n’abalala.

Related posts

USA Props Sanctions On The Speaker Of Parliament And Other Government Officials.

Dean Lubowa Saava

Red Eye disease breaks out in Kampala.

ndiwalanakiwa@gmail.com

WOMEN : The Celebration Is Worth It.

Dean Lubowa Saava

Leave a Comment