Naye ddala batulaangaki okutuwalakatta emitwe batyo okutuuka no’musaayi
okujja. Gwe owo’mulembe guno okuva mu mwaaka gwa nkumi bbiri (2000)
okuda wagulu wama ka nkunyumizze kyetwayitamu nga bakyinyoozi
tebanabawo , ate gwe owa lukumi mu lweenda kyenda (1990) okuda waansi
embeera eno etekwa okuba nga nawe yakuyisa bubi lwakuba tewayina
kyakusalawo kale katwejukanye ate nga abalala webayiga.
Okulukuviira kuntono, edda eyo mu myaaka ja lukumi mu lweenda kyenda
(1990), okusala enviiri kyabanga kyattabbu nyo , nga ensala yenviriri zo ,
esalawo nyo kulinya lyonakazibwaako paka nga zizeemu okukula.
Wabangawo ebika bibiri ebyenviira byewayina okusalibwanga omwaali
kebayittanga akapatta na akabumba oba shawuliini.
Aaahaaa buli wenzijukira ne’nseko zinzita kubanga , Omuntu weyabanga
akasazze, yabanga wanjawulomuko kuba yayawukana nga kubalala
olwomutwe ogwabaanga gwakayakana nge’munyenye era bamulengerera
nga eri bulyoomu neyesegga nga bagamba nti *muviire owempatta ye
ayitewo anti omutwe bagukolokota nga tosobola kulaba wadde nakaviiri we
kafulumira, wena nga omutwe gulinga ogwa kabirinzi enkolokote .
Some of the hair cutting tools they were using before the razor blades.
Munange no, abantu banji ensala yenviiri eno bajetanira nyo mu biseera ebyo
kuba kyatwaalira nga ddala ebbange ddene okuddamu okukusala .
Oba ebiseera ebyo ejjirita zali zanjawulo ki kuz’ensanji zino kuba
bakukolokota nga wama akasana nekalyooka kakuyitamu kujjira kusanuuka
obwongo .
Ekyewunyisa ate, sigamba nti oba yeeyo engeri eyaliwo yoka jebalina
okukozessa, aaa nedda, waliwo engeri bbiri lwakuba kirabika eyo jenjogedeko
wagulu yeyali esinga okukozessebwa.
Makaansi ate yo yakisussa nga enjogera yenakuzino kuba yo nakati jebuli
eno ekyakozesebwa mu masomero okutekesaamu abayizi empissa, basobole
okusala enviri ezetagibwa musomero, era wooba nenviiri zebatetaaga
bajikuyisaamu emirundi nga esattu newefunira enguudo mutwe ejimanyikidwa
nga ebigooli.
Ejjirita ne’makaansi wabula byawamba omulembe ogwo nga toyina
wobiwonera kuba bwewafunanga omukisa okwesalirirawo kuki ekiba
kikozesebwaako, byona byaba aga bya bbule.
Abalala bambi bbo ate tebafunako namukisa gwa kwesalirawo nga kyebaba
basazeewo kyeekyo kyeekyo tekiteswaako, kyoka ate nekakutanda nolonda
kyona kyolonze omanya wotasalwa bigooli awo nga omanya oja kuba wa
kapatta.
Amasomero manji mubiseera ebyo, tegetawanyanga kuba wewabanga
nenviiri enkulu nga toyagala kuzisala, bakuyambanko okwanguyiriza anti nga
bakuyisaamu makaansi bulunji nyo okusinzira nga webaba bagalaa.
Olusi bakusala nga okuva mukyeenyi paka enkotto,zigizaga,bizeero nebirala
binji nga newoba weyita wakattawi lazima oba oyina okuzisala oyagala
toyagala olwokwewala okuyimbirirwa ebigooli anti balufuulanga luyimba nti
*owebigooli yalidde *
Abaana banji balemwa okusoma lwangeri jebasalibwangamu enviiri kuba
eyalina endmbe oba akilizibwa okuba nenviiri, yoyo yeka eyalinga tasoma.
Kirunji kati emirembe jigenze jikyuuka , bulyoomu kati asala byayagala
simanyi bino bimememeya ne’misono emirira minji nyo ejiriko kati kuba
saluuni weziri mpitirivu era gwe welobozza joyagala nekyoyagala okusala ate
ekitaliwo mu mirembe jiri kuba basazisaako ne kumayinja edda enyo enyo.
Wooba bali bakusazisizaako mankaansi ne’jjiritta nkutumideko nyo nti webale
kuyita mu mulembe ogwo.
Avertisment.