Okusinzirira ku bbanka y’ensi yonna, abantu abiri mu mukaaga ku buli kikumi bokka mu Uganda be batereka ssente zaabwe mu bbanka, sso ng’abantu abasinga obungi tebeesiga bbanka. Obutabeera na bwesige buno bweyongera olw’emisango gy’okubulankanya emisolo egyeyongera mu kitongole kya bbanka. Kimalamu amaanyi okulaba nti ebibiina ebitono abantu bye baali bakyalina mu obwesige, gamba nga Bbanka kati by’ebirimu obubbi, obunyazi, n’obuli bw’enguzi.
Omuwendo gw’abantu abeemulugunya ku ssente zaabwe okubbibwa mu bbanka gweyongedde, nga mu 2021 emisango 82 gye gyaloopebwa ate mu 2023 ne gyeyongera okutuuka ku 140. Omuze guno gweraliikiriza era guleetawo ebibuuzo ku kwenyigira kw’abafere abakolagana n’abakozi ba bbanka okubba ssente okuva mu bakasitoma. Poliisi evunaanyizibwa ku bumenyi bw’amateeka ku mikutu gya yintaneeti nayo evudeyo ku nsonga eno, ekiraga nti wayinza okubaawo obubbi obw’omunda mu bbanka zinno.
Engeri emu ey’obufere esinga mu kitongole kya bbanka bwe bufere mu kwewola mu Bbanka, nga bbanka zisaba amagoba amangi ku looni ekivaako abantu okufiirwa ssente ennyingi. Ekyokulabirako ekyeyoleka ye Kizza Ruth Nakirijja Nnalongo eyeewola ssente mu bbanka ya Equity n’asabibwa okusasula ssente ezisukka ku ze baali babanja. Wadde nga yayanjudde obujulizi eri ( TMC media group) obulaga nti yasasula amabanja ge, bbanka yasigala eky’asaba ssente endala n’okutunda ebintu by’eyali awadeyo nga omusingo.
ADVERTISEMENT
Abantu bangi beesanga mu mbeera ezifaananako bwe zityo, nga beewola ssente mu Bbanka ne bamaliriza nga bayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Abamu bategeezebwa nti obudde bw’abwe obw’okusasula buweddeyo, ne bwe baba nga banyiikivu okusasula nga n’obudde bukyaliyo. Kino kireeta okweraliikirira ku bwerufu n’obutebenkuvu bwa bbanka.
Kikulu nnyo okunoonyereza n’okuvunaana abo abavunaanyizibwa ku kunyaga abantu ssente ze baakola n’amaanyi gabwe. Emisango gy’obufere n’obuli bw’enguzi egyeyongera mu kitongole kya bbanka gyetaaga okukolebwako okuzzaawo obwesige mu bitongole by’ebyensimbi.
OLOWOOZA KI OMUNNAYUGANDA KY’ASANYE AKOLE OKUSOBOLA OKWEWALA OKUBIBWA SSENTE ZE ABAFERE ABEYONGEDDE MU BBANKA ZAFFE?
Discover more from TV-10 Gano Mazima
Subscribe to get the latest posts sent to your email.