Emboozi ku ngeri Mark Bugembe eyali Buju mu myaka gya kyenda (90s) kati Buchaman bw’azze apangamu obulamu.
OmuziraMbogo ono muzzukulu wa Kyoto Kiwutta Makumbi Kayiira Gajuule, asibuka Kyaggwe ng’era family ye emanyiddwa nnyo mu kutema ennyama mweyaggya n’erinnya lya Butcherman. Olw’okubeera ow’eMbogo, Kyagulanyi n’amukwasa mutabani we olw’okusoomoozebwa kwalina okwobulemu. Kankuzzeeyo ku mboozi byonna gyebyatandikira, mbiyitemu olukwakwayo emmandwa lw’eyita mu bikajjo.
Bebe Banton omuyimbi wa Firebase
Kino kyabagatta nnyo kubanga bombiriri ekirooto kyabwe kyali kubeera Buju Banton. Bebe Cool asitula Buchaman amuleeta kuno ng’amusomeddemu nti nnina munnange e Kamwokya alina embeera z’ekibanda ennyo nga ggwe, nkimanyi mujjakukwatagana.
Kinajjukirwa nti Bebe yali akyawangaalira wa Ssengaawe awo ku White Flats e Bukoto gyeyazaalira ne Allan Byarugaba muyite omuyimbi Hendrix. Kwekugamba nti embeera za Bebe zaali tezigwa mu ghetto yut Buchaman akageri keyaliko amafuta ga minisita kitaawe Hajji Jaberi Bidandi Sali. Kati bw’amutuusa amuwa Bobi Rob kyokka oluvannyuma vaamubuusa nti Bob ye Rob ekitgeeza nti okola ekiyitibwa repetition kwekukyusa n’afuuka Bobi Wine.
Buchaman yasanyuka nnyo okusisinkana enkambi eyali emufaanana, nga yonna yakubwa bitya!. Mwalimu Black Boy, Toolman Kibalama, David Ssifaayo muyite Master Parrot ob Kittante, Nana, Alusa Lover Dee, Thunderman, Weatherman, Dizzy Nuts, Bobi Rob n’abalala njolo kubanga y’enkambi eyali esuza buli mulenzi w’esswagga e Kampala. Kasita yabanga ng’amanyi okugakumamu .
YE LWAKI SSIKUWUMMULIZAAMU KO WANO OMALIRIZE OKUWEERA?!.
ANTI EKITUNDU EKY’OKUBIRI NKITEMEDDE EMPANGI KWENNAASINZIIRA OKUKWAZZA KIDIMA KINNAWADDA.
YENZE SSEKANYUMIZA AMANSA BWINO
Discover more from TV-10 Gano Mazima
Subscribe to get the latest posts sent to your email.