Justice In The CityNational News

EFFUTWA NE’KKOBAANE MUKKIKA KYENDIGA LYANDIREMESSA OBWEKANYA BWOKUFFA KWA LWOMWA BBOSA DANIEL EYALI OMUKULU WEKKIKA KYAABWE.

Bukya lubba nga lwamiindi, kyadaaki omuna uganda amazze nafuna kusuubi
lyobutemu okukendeera munsi yaffe oluvanyuma lwakakuundi ka bateemu
abekoboobana okumalawo obulamu bwe’yali omukulu wekkika kye’ndiga
okukwattibwa nebasibwa munkomyo awo no omunaansi wakuwewerako
lwakuba ekisinga okukwaasa enaku nti ate abamukiriza ekaganga bamuziro
gwe gumu naye, kale kyewunyiisa nyoo era kiragga nekifananyi kirala nyo eri
obuganda bwonna ne kkabbira endala zonna.


Okujjukizaako, Bbosa yattibwa ku lunaku olwali olwa sabiiti abanji lwebamanyi
nga olwa sunday nga enaku zo’mweezi abbiri mu ttaano omweezi
ogwo’kubbiri bbiri abiri mu enna (25/2/2024) mubudde nga enjuba eggolooba,
awo ekikangabwa nekibutikira abomu Kikandwa Lungujja, Rubaga Divison,
jeyali awangalira wamu no’buganda bwonna nokusingira ddala famile ye
nekkika kyendiga.


Amawulire gano agenaku gasasaana nyo ku sipiidi yakizungirizi,
okwawukanako ku malala agazze gabaawo agali mu lubu lwokutirimbula
abantu na’amasassi, kubanga banji abatiddwa mungeri yeemu  nga bikoma
awo bwebityo mu kunonyereza abamu bakyifuula nangoombo anti tukaanda
kulinda alipoota ku batemu nga buterere, no’luusi  bafulumya ebisiige
byabatemu naye nga byona bya kuwudiisa. Baletera nabayisiraamu
okwetamwa ensi yabwe kuba buli byebafulumyaanga byona nga biragga
abatemu basiraamu, ekintu ekizze nga kyewunyisa abana uganda
nabe’nzikirza eno.

Kuluno no kyawukanyeemu ko era kyensubira nti abenzikira eno bafunye
akamwenyumwenyu kumatama anti telubatwalideemu nga bulijjo
abebyokwerinda bwebategeeza egwanga.


Esonga lwaaki omusango guno gwawukanye nyo kumirala ejjize jibaawo,
kwekuba nti abantu basoobola okufuna abatemu era nebabakolako nga
wekyaali kyetagiisa ekintu ekyasanyula abasinga  kuba omu kubbo
yattibwaawo mbagirawo, omulala navaawo ne’bisago ebyamanyi nga
asigaddeko kikuba mukono newankubadde  yatwalibwa mudwaliro afunne
obujanjabi obwamangu asobole okuwerenemba no’gwobutemu ate omulala
naye nakwatibwa wadde yasooka kumalamu mussu  anti ebyokugumya
embiro tebyasoboka nga weyali akyibazze.


Nekisingira ddala mubyonna, basobola okuloonkooma bonna bwe baali
mupaango guno era abamu bakwatibwa dda batemezza mabegga
wamitayimbwa abandi  bakyaali mu muyiggo gwaabwe bakwatibwe  nabbo
nga nasingira ddala ateredwaako omusingo ye TABULA LUGGYA agambibwa nti yeyali yegwanyiza entebe ya Bbosa kati omugenzi era kigambibwa nti yeyali emabegga wettemu lino lyona okubaawo olwesonga zo’bukulembezze bwenono za Buganda.


Obudde buno abantu kati bataano (5) balimunkomyo nga okunonyereza no
muyiggo  bwekugenda mumaaso. Abavunanibwa basubirwa okudamu
okugasimbagana no’mulamuzi mukooti nga 11/april/2024 okwongera okuwerenemba no’musango ogwo’kutemula Bbosa Daniel eyali omukulu wekkika kyendiga.


Nga TV10 twebazza bulyoomu eyasobola okuyambaako musonga eno
okutuuka wano weeeri kati , nawe asobola okuyambaako okuwaayo
kukikyetaagisa ekirara ekiyamba ,  kikole  bambi no’bwewombeefu okusobola
okugussa ensonga eno. Tukusaba okolagane na abobuyinza  olwo  famire
yo’mugenzi eryooke efunne obwenkanya .


Twongera okukujjukiza okweekuuma buli wamu wona wooba oli , okubeera
omulabuffu nga wegendereza nokwekengera singa embera jolaba eba
ekuletedde okubusabusa ekiba  kigenda mumaaso,awo tulyooke tusobole
okutaasa obulamu bwaffe no’bwabantu abalala.


Webale kugoberera nsonga eno nate tusisinkane mukitundu ekirala nga
tukuretera obwekanya bwokuffa kwa Lwomwa Bbosa Daniel.

Advertisment.

Related posts

President Museveni Grants Clemency to 130 Ugandan Prisoners

Tusiime Scovia

EBYENJIGIRIZA: KY’EKISEERA GAVUMENTI EKENDEZZE KU BISALE BY’AMASOMERO

admin

The Ugandaā€™s new oil terminal is being planned to work as follows.

admin

Leave a Comment