17.5 C
Kampala
December 23, 2024
Opinions & Blogs in Features NewsToday In History

WEEBALEGE NNABIJJANO KULIKA OKUTUZAALIRA KABAKA EJJANO!!: OMULANGIRA MUTEBI AZAALIDDWA MU DDWALIRO E MULAGO.

Obuganda bwabuna essanyu, anti bwerwali bweruti nga muzzukulu wa Mugema e Bbira. Ow’EnkimaNnaabakyala Sarah Nalule Kisosonkole Omuzaana Kabejja, ng’azaala Kabaka ejjano. Bw’atyo Omuzaana n’afunirawo erinnya Nnabijjano. Lwaki Nabijjano ne Jjano mannya ga nkizo nnyo mu kuzaalibwa kwa Lukomannantawetwa?. Omanyi Kabaka ssebo tamala gazaalika, n’olwekyo omukyala oyo kyeyabanga azadde lyabanga jjano lyennyini butereevu ng’afuukirawo Nnabijjano olw’okuzaala Kabaka ejjano Ronald Fredrick Kimera Mutebi II muzzukulu wa Mugema ey’eddira Enkima.

Mu ddwaliro ly’eggwanga ekkulu ku kasozi Mulago ekisangibwa mu kibuga Kampala. Omuzaana ebisa by’okuzaala Ssebunywa eyo gyebyamusimbira. Nga 13 ezzooba lya Kafumuulampawu eddaaza lya 1955. Omulangira Ssaabataka eyalwedda n’afuuka Ssebunnyabwamusota, munnange yatonnya ku nsi!. Ng’ava mu ntumbwe z’eyali Kabaka w’ekiseera ekyo Sir Edward Fredrick Walugembe Muteesa II wabula ng’aBangereza bo baamuyitanga lya King Freddy. Kitaawe wa Mutebi mu byafaayo bya Uganda eyaawamu ye mukulembeze w’eggwanga eyasooka nga Nnyaffe Uganda yaakafuna obwetwaze mu ddaaza lya 1962.

Ssiikutwale nnyo mu byabufuzi akageri kebiri nti byebyasuula Kabaka Muteesa ku kawansazi, kambyetegule mu ngeri ya jjanzi ku mukazi muzadde, nneme kweyagaagula ng’azinira mu ky’ebikkwa nti bwekinaapasuka toosule bugulebe!!.

Nga nnabe amaze okugwawo, emberebezi ezaleetebwa Kawenkene Obote bweyamegga ate n’aluma mu. Okukolera Kabaka Muteesa omupango n’amutega omugaati ogwalimu obulukuumi mu buwanganguse ku mawanga gyeyali mu zzooba lya Museenene nga 21 eddaaza lya 1966. Bino ssaagala kubizza olw’ennyiike ebifumbekeddemu so ng’ate tuli mu lunaku lwa ssanyu olw’amazaalibwa ga Sserwatikalwattaka ag’emyaka 66 egy’okuyuuguuma.

Njagala ojjukire nti Matumpaggwa ayuuguumye okukira ba Jajjaabe bonna abaamusooka ku Nnamulondo, Kisiikirizekyakatonda wangaala osukkewo Ayi Beene. Ppemenku Lukeberwa Omutyogubalensimbi, okukisa omukono kwa kitaawe okubaawo nga 21 Museenene 1969, Omulangira Mutebi naye yali Bungereza, yalina okuteekebwateekebwa ba fa nfe ba kitaawe okwali Ronnie Owen ne Richard Garr-Gomm.

Obubaka buno bwetikkibwa eyali mukuumaddamula w’ekiseera ekyo, Katikkiro Jowash Ssibakyalyawo Mayanja Nkangi nga kaakano mugenzi. Ono ky’afaanaganya ku Katikkiro Mayiga alina Ddamula olwaleero, bombi b’eddira Mutima basibuka Bbaale. Munnange Obuganda bwagaana okukkiriza nti Kabaka Muteesa II mukwano gw’abangi, yali akisizza omukono okutuusa omusebeyiwe Mayanja Nkangi bweyavaayo n’asasaanya amawulire ag’ennaku eri Obuganda.

Nkangi bweyakawanngamula, Obuganda bwannyogoga nga buli omu alinga akubiddwako nnavooto anti nga beewunise okukira abakyawe. Abayimbi ennyimba baakooloobya okusobola okubikira Obuganda, nayenga ssebo mu kadde ako okusuuta Kabaka okira awemudde. Kyokka olwomukwano gwa Kabaka, muzzukulu wa Gabunga Dan Mugula yamira ensanafu n’akooka wakati mu bunkenke bw’okutya okutogozebwa basajja ba Kawenkene.

Oluvannyuma Kawenke Obote, Ssaalongo Idd Amin Dada Nyabire Oume. Yateeka Obote mu kingaangaali n’alindiggula eri ng’ekijolya. Okukkakkana nga ssi ye mukulembeze w’eggwanga. Era oluvannyuma lw’emyaka ebiri (2) nga Ssekabaka akisizza omukono. Enjoleye yazzibwa kuno mu ddaaza lya 1971 n’eyolekera mu masiro e Kasubi.

Emiranga gyatemwa buto, Obuganda bwebwaddizibwa enjole ya Ssaabafumbo eyali amaze okufuuka Ssekabaka anti Kabaka bw’aggya omukono mu kibya afuuka Ssekabaka, kubanga bulijjo n’ekimanje bwekita ebadde ensuwa efuuka luggyo, nga tekyayinza kuddamu kufuuka nsuwa nate. Henry Kyemba, eyali ssaabawandiisi ow’enkalakkalira mu kkakkalabizo ly’omukulembeze w’eggwanga, yeeyatwala obuvunaanyizibwa ku nteekateeka y’okutereka enjole ya Ssekabaka mu masiro.

Mu ddaame lya Ssekabaka muteesa e lyasembayo agamba nti ‘okusooka mu byonna, nnaamidde omwanawange Ronald Fredrick Kimera Mutebi II obusika bwange, gwempadde okusikira omutuba gwange”.

Ssabataka Omulangira w’Engoma Mutebi, yaleetebwa okuva e Bungereza akole omukolo ogusinga obukulu. Omukolo gwentegeeza, kwekubikka akabugo mu bwenyi bwa Kabaka akisizza omukono. Omukolo guno gukolebwa Omulangira abeera alindiridde okulya engoma. Olukusa lwalina kusabwa mukulembeze w’eggwanga Idd Amin, mu bigambo by’Amin yabuuza omuyambiwe Abas nti ”Omukolo gw’omwana okubikka kitaawe akabugo mu maaso kyali kyakuzuukiza kitaawe?” naye oluvannyuma yakkiriza emikolo gikolebwe.

Wabula, olwokutya nti gavumenti yali yaakuteebereza nti obwaKabaka obwali bwawerwa Obote bukomyewo, abateesiteesi batya okutta omukwano wakati wa Buganda ne Amin anti kyali kyangu okubateebereza okumuyeekera. N’olwekyo obulombolombo obuggyayo amakulu g’omukolo guno obumu tebwakolwa….


Discover more from TV-10 Gano Mazima

Subscribe to get the latest posts sent to your email.

Related posts

OPINION: Music Vs Politics.

admin

BOBI WINE DECLARES WAR.

wakisafredw@gmail.com

Top Stories That Made 2023 a Year To Remember

Dean Lubowa Saava

Your thoughts matter—share them below!