In Buganda, certain customs and traditions are being overlooked, leading to current questions about the King’s situation.
Learn from our history and strive for change. Listen to this insightful audio for more.
Mu luyimba lwe ‘Dippo naziggala’, Kafeero anyumya ku musajja Ssiroganga eyattibwa olw’okwasanguza ebyaama ya Kabaka wabula erinnya lya Kabaka oyo talyogera. Ffe kyetuvudde tusalawo okukola okunoonyereza era ebikwata ku Kabaka oyo byetuleese.
DIPPO NAZIGGALA https://youtu.be/oEBFtu4foVI?si=XFm_RYS6FQ1KEGUB
Kabaka oyo ayimbibwako mu luyimba https://youtu.be/dGS0ypb5R-E?si=k6fecg2iUisjqLCD olwo ye Ssekabaka Ndawula. Yalya Obuganda mu mwaka gwa 1724 oluvanyuma wa kizibwe we Ssekabaka Tebandeke Mujambula okukisa omukono.
Ssekabaka Ndawula yali mutabani wa Ssekabaka Jjuuko Mulwaana gweyazaala mu muzaana Nandawula Kabengano ow’ensenene. Kigambibwa nti mukiseera Ssiroganga mwattirwa, Ndawula yali alina olubiri e Kyebando era nga olubiri luno mwemwali entujjo Kafeero jyayimbako.
Katikkiro wa Ssekabaka Ndawula yali ayitibwa Nsobya ow’Effumbe. Ndawula yalamula Obuganda okutuusa mu mwaka gwa 1734. Omuliro gwa Buganda bwegwazikira yasikirwa mutabani we Kagulu Tebukywereke. Kitegeerekeke nti Ssekabaka Ndawula y’azaala ba Ssekabaka ba Buganda abasatu wammanga: Kagulu, Kikulwe ne Mawanda.
Bana byafaayo bagamba, Ndawula yali mukadde nyo era nga kyekyavirako amaaso ge okufuna enseenke. Yagezaako byonna okugawonya wabula nga buteerere. Olwo nno kwekulagirirwa omuganga eyamusiindika mu kibira Nawanku ku kasozi Mengo akole emizizo okusobola okuwonya amaaso ge. Ebyaddirira ndowoza buli omu abimanyi kubanga Kafeero yabiyimba n’abiggusa.
More about this topic, check our youtube channel.
Advertisement.