Okukulagako kukibalo nga ogigeraageranyiza (Facebook) nemikutu emirala kunkozesa yaagyo buli mwezi, Facebook erina abantu obuwumbi busatu nobukadde 30 buli mwezi , eddirirwa YouTube nabantu obuwumbi 2,491, nekuddako WattsApp nabantu obuwumbi 2, Intagram obuwumbi 2, WeChart akawumbi 1 nobukadde 327, TikTok akawumbi kamu nobukadde 218, Telegram obukadde 800, Snap Chat obukadde 750, Douyin obukadde 743, Koishou obukadde 673, X eyali emannyiddwa nga Twitter yo ebeera mubantu obukadde 666 buli mwezi, Sina Weibo 599, QQ 571 wamu ne Pinterest obukadde 465.
Abantu obuwumbi busatu nobukadde 300 abakozesa Facebook, basinga obungi omuwendo gwabantu mu mawanga agakyasinze okubeeramu abantu abangi. Wano njogera kumawanga nga China India namalala, kubanga njagala olabe, China erimu abantu 1.4 Billion, India 1.4 Billion okk katuleete ne Bangladesh erimu abantu obukadde 173. Kati bombi nebwoobagatta wamu tebeenkanaankana nabantu abakozesa Facebook munsi yonna.
Omwaka oguwedde, India yebade ekwaata kisooka mukukozesa Facebook nga erimu ba Facebook Users obukadde 385 nemitwaalo 60, Amerika ekwaata kyaakubiri neba Facebook Users obukadde 136 nemitwalo 60, Indonesia (136.3 million), Brazil (111.7 million) ne Mexico (94.8 million).
Mu Africa yonna, abantu abakozesa Facebook bali obukadde 270 nga kiteeberezebwa nti wegunatuukira omwaka 2025 baggyakuba bayngidde obukadde 300, Misiri yesinga okukozesa Facebook nga erina ba Users 4,882,560, South Africa ekwaata kyakubiri neba Users 3,350,640, Morocco kyakusatu 2,642,920 namawanga amalala nga bwegeddiringana. Okusinziira kukunoonyereza okwaakolebwa mu mwaka gwa 2022, Uganda erimu ba Facebook Users 2, 872 200 nga ekwaata kifo kya 22 mu Africa ate munsi yonna eri mukifo kya 56.
Kubantu abalina Internet abakozesa emitimbagano munsi yonna, Facebook etwaalako 57%, ate ku muwendo gwabantu abali munsi yonna, abantu 38% beebakozesa omukutu guno. Abantu abakyasinze okukozesa Facebook beebo abali wakati wemyaka 25-34 okusinziira kubanoonyereza.
Bwotunuulira ebibalo, biraga nti abantu abali wakati w’emyaka 13-17 abakozesa facebook bali 4.8% munsi yonna, 18-24 bali 21.5%, 25-34 bali 29.9%, 35-44 bali 19.4%, 45-54 bali 11.6%, 55-64 bali 7.3% ate okuva kumyaka 65 nokudda waggulu bali ebitundu 5.6% bokka.
Mu mwezi gwa Mukulukusa bitungotungo nga 29, 2021, Zuckerberg yalangirira nti Facebook yali ezze wansi wa Kampuni emannyiddwa nga Inc.Meta nga kati eno yeekulira emitimbagano okuli Instagram, Threads, wamu ne WhatsApp. Mu Uganda, enkozesa ya Facebook ekyaayogeza bangi ebitakwaatagana nga Govt egamba yagiggala kyokka abantu bagikozesa awatali abakuba ku mukono, kyokka nga waliwo ne ssente abanene mu Govt zebaasaba President Museveni ngabamusuubiza okuggala Facebook nga bagamba nti banna Uganda bamuvumirako nokumuvvoola nti baggulewo emikutu emirala, ekitalabwangako nokutuusa olunaku olwaleero.
Mark Zuckenberg mukutandika Facebook agamba yali atuukiriza kirooto kye. Olwaleero yoomu kubagagga abasinga munsi yonna nga ayingiza 40.3 Billion Dollar nga buli ttunduttundu lyomwaka gwebyensimbi. Mu mwezi akola amagoba ga Billion Dollars 4.6.
Eno emboozi yawandikidwa omwami Gerald Katumba, ela ne esunsulwa omwami Umar Kasozi.