Obuli bw’enguzi mu bakungu ba Gavumenti ab’oku ntikko butyoboola demokulasiya n’obwesige bw’abantu, ekivaamu okukyusakyusa enkola ezimu. Enkola ennungamu ey’okulwanyisamu enguzi gamba ng’enfuga entangaavu n’ebintongole ebinywevu ebinoonyereza, bikulu nnyo.
Obuli bw’enguzi mu poliisi n’abasirikale b’ebidduka bukosa obukuumi bw’abantu, busaanyawo obwesige, era busigala nga tebubonerezedwa. Okusobola okwewala obuli bwe nguzzi tusobola okuyita mu kutendeka abakozi ba Gavumenti n’abantu babulijjo akabbi akali mu kuwa n’okulya enguzi, n’okukangavvula aba ababa bagiridde kw’ossa nokuteeka abakozi ba Gavumenti ku ninga okukola aliipota eraga embalirira ye ssente zonna ezibeera ziyingidde n’eziba zifulumye mu nsaako zaabwe.
Obuli bw’enguzi mu masomero n’amalwaliro bussa mu matigga omutindo gw’ebyenjigiriza n’ebyobulamu, n’ebugyawo n’obwenkanyi mu kuweereza abantu mu masomero namalwaliro. Enkola ez’amaanyi ez’okulungamya abakwatibwako n’okuba n’obuvunanyizibwa byetaagibwa okulaba nga tulwanyisa obuli bw’enguzi mu bitundu byonna ebya Uganda.
WA ENDOOWOZA YO KU NGERI GYE TUYINZA OKULWANISAMU ENKOLA YO KULYA ENGUZI MU NSI YAFFE.