22.2 C
Kampala
December 23, 2024
Opinions & Blogs in Features News

DUO ENO YALI NNUNGI MU BULI KIMU BAMBI, AMALOBOOZI ENDABIKA ATE NGA BAFUMBO OKUMALA EMYAKA EGISOBA MU 40 NAYE TEBAAFUNA ZZADDE WAKATI MU BO

Bya Ssekanyumiza

Abayimbi ab’amaloboozi ababiri oyinza okubafaanaganya omugenzi Ken Rogers ne Dolly Paton oba kale mu ngeri ennyangu batwale nga mwami Matiya Luyima ne Nakakaawa. Embeera za muzeeyi Mugula Dan ne kabiite we kati omugenzi Firida Namuddu, mwattu zaali zeegombesa kubanga bombi baakikula kimu ntegeeza nti omwami n’omukyala baatondebwa nga bakkakkamu nnyo.

Entebbe Guitar Singers, abayimbi bano gyebaasisinkanira nebatta ekyama okutuusa ggyolyabalamu emyaka esatu omukyala Namuddu muzzukulu wa Mugema lwatuvudde ku maaso.

“Akange nkaagala” lweruyimba lw’ababiri olusinga okumpoomera buli lwenduwa amatu, kyokka nga balina n’endala nkumu mu ka ttooni ka Namuddu akaseenekerevu okwo gattako obukkakkamu bwa Mugula mu ddoboozi ery’akawoowo. Ababiri bano ebitone baalina bya bayimbi abasoba mu kkumi, kale bwebaakwatagana baakola magero.

Oluyimba “Mwami Obadde Ovaawa” wano Namuddu yayolesa empunda y’eddoboozi ate n’omwami n’awerekera bulungi, bano baali basukka ku bikolwa ebipaatiike obupaatiike ekintu nga bakiteekera ddala mu buliwo, kirabika n’ensonga y’omukwano ogwali wakati wabwe gwakola kinene, anti walaba nga Namuddu ng’akabikira ddala ng’ayagala nnyo kabiite we omugogofu eyalina langi y’eggiraasi mu biseera biri nga Kakulu tannasomba ate nga ne Mugula akola kyekimu eri Kanirinnage we.

W’olabira bino mwami Mugula awezezza emyaka 53 mu kuyimba, ekintu kyenkakasa nti ekyafaayo kino y’asoose okukikola. Njakumunoonyaako ewuwe e Busega mmuyozeeyoze, naye wenna ali eyo ng’onyumirwa ebiringa bino osaanye onneegatteko tuzze amaanyi mu mpagi zino sseddugge eziwaniridde ekisaawe kino omusingi kwegwazimbibwa, kubanga eky’amazima embeera yabwe ssi yeyo mwebasaanidde okuwangaalira. Kaweefube w’okuteeka ebyafaayo bino mu bwino oba kiyite obufumu obwa tekinologiya, byetaagamu ku nsimbi nze nga ssekinnoomu zennyinza obutasobola kyokka ng’endege ziba nnyingi neziyoogaana, kale bw’obeerako nekyonkwatiddeyo mu butono bwa kyo kikola amakulu mangi.


Discover more from TV-10 Gano Mazima

Subscribe to get the latest posts sent to your email.

Related posts

Bobi Wine’s Wife Barbie Threatened Brother-In-Law Nyanzi, MPsSsegirinya,  Ssebaggala, Lawyer Nalukoola And Mufumbiro Over Kawempe North Political Ambitions

Dean Lubowa Saava

Buganda: What Is Their Biggest Problem?

admin

THE QUEEN’S WAY FLYOVER: A Lethal Obstacle For Commuters In Kampala.

admin

Your thoughts matter—share them below!