National News

OMUNNAYUGANDA AGOINGE WA?

Embeera eriwo mu ggwanga lyaffe yeeraliikirza. Kirabika enkola ya Gavumenti ey’okusaba omusolo tekyalina makulu. Tebereza ssente z’etuuwa okuba nga embeera y’enguudo zaffe yeeraliikiriza nga mulimu ebinnya bingi ebikaluubiriza n’okutambula kwaffe. Okugeza oluguddo lwa Busega ku lukadde luffu nnyo, kw’otadde no lwe Nateete awamu n’enguddo endala nnyingi. Okugatta kw’ekyo amalwaliro gaffe tegalina bintu by’etaagisa okusobola okulabirira abalwadde obulungi ekivaamu okufa kw’abantu bangi. Abantu olaba balina engombo egamba nti agenda ekiruddu tadda!!!!

Ensonga endala ye ssente ezigenda zeeyongera mu kusomesa abaana ensangi zino, ekivaako abaana abava mu masomero okweyongera. Ate oba kati amasomelo mangi tegagwa wansi wa kakadde kamu. Omunnayuganda mazima ddala ki ky’alina okwenyumiriza mu nsi ye?

Ebizibu bino bireeta ekibuuzo nti ssente z’omuwi w’omusolo zigenda wa? Kirabika nga abantu abamu, bannabyabuffuzi olw’omululu bakusa mbuto z’abwe. Tetusobola kulinda bannansi kumala kukola ffujjo enkyukakyuka ebeerewo. Kye kiseera gavumenti erowooze nnyo ku ky’okussa ssente mu bintu bye tusobola okuganyulwamu waamu nga egwanga.

OLOWOOZA KIKI GAVUMENTI KY’ESSANYE OKUKOLA OKUSOBOLA OKW’EWAALA BALYAMMERE AB’EKWEKKA MU BO ABALEMESEZZA ENKULAKULANA MU GGWANGA LYAFFE?

Related posts

Museveni Meets Police Council: Security, Stability Top Agenda

Dean Lubowa Saava

POLITICS: WHERE DID JOHN KATUMBA GO?

admin

JOBS ARE HERE, UGANDANS JUST LACK VISION–MUSEVENI

admin

Bobi Wine Launches Fundraiser as NUP Faces Cash Crunch Ahead of 2026

Barbra Zeka

FDC Factions Clash Over Sarah Eperu’s Burial.

admin

The Emergence of the Democratic Front: A New Chapter in Ugandan Politics

Cathy Mirembe

THE CAVE OF CORRUPTERS: URA OFFICIALS IMPLICATED IN 15.7 BILLION SHILLINGS SCAM.

admin

Former Inspector General Of Police, John Cossy Odomel, Has Passed Away

Ssekanyumiza Amansa Bwino

Ministry of Lands Launches Blockchain System to Combat Fraud

Barbra Zeka

NRM Leadership Engages Teams for Round Two of Digitalisation of Membership Register

Barbra Zeka

Leave a Comment