Entertainment

Oluyimbalwe Luli Mu Bisooka Mu Nnyimba Ezisinga Mu Myaka 50 Egiyise

Weebale egyo gyonna gy’otuusizzaako engalo, akyakazana naawe otyo, gwebitatambulidde bulungi nkwagaliza birongooke. Omanyi tugamba nti nnaku za basajja buli omu azitenda lulwe. Nkuzigiridde munnabitone mu mukanyomero ketukola buli Zzooba erya Wamunyi oba luyite Olwomukaaga nga luno lwennyini.

Frank Mbalire yazaalibwa Nateete mu Kampala mu maka ga Yawe Joseph ne Nambi Dorotiya, bweyamaliriza emisomo gye yatandika endongo era mu myaka gy’ensanvu, omuvubuka embulakalevu yeegatta ku Thames band wamu ne Peterson Mutebi gyeyakolera oluyimba lweyatuuma Bamuleete olwamutunda ennyo mu badigize.

Afrigo Band kyekimu ku bibiina mweyayimbira, baatandikawo Blazing Beats ne Misuseera Philly Bongole Lutaaya nga kw’otadde Fred Kigozi. Teyakoma okwo yatondawo Misty Jazz ng’eno yayambibwanga ko munywanyi we bwebaalinga mu Afrigo Band munyanyaagiza Mulere Papa Moi Hajji Moses Matovu.

Ng’amalirizza okukola ennyimba zi luwandamanda ggwe z’oyita hit nga Bamuleete ne Ssirikusuula muyite Ndikwambala ng’ekkooti ng’abalunyumirwa abangi bwebaluyita. Yayabulira eggwanga Uganda n’ayolekera Buswedi (Sweden) anti ensangi ezo Sweden kyali kifo kirungi eri abalina ekitone ky’okuyimba era wano mu Ggwanga Uganda bangi kubaayimbi abalungi ennyo omuli Philly Lutaaya, Madox Ssematimba, Sammy Kasule, Naddibanga n’abalala ntoko okuyimba baabangukira Sweden.

Mu mwaka gwa 2009, Mbalire yakomawo kuno n’atereera ntende. Mu kitundu ekiddako ngenda kukulaga amaanyi ga Mbalire g’alina mu kukuba ebivuga nga ssimwangu kugeraageranyizika newankubadde nga bangi babuzaabuzibwa olw’okutabula Frank Mbalire n’omugenzi Fred Mbalire Kateeteyi era nga waliyo n’abaakikwata obukusu nti eyayimba hit ya Ssirikusuula luyite Ndikwambala ng’ekkooti yagenda dda ewa Ssenkaaba so nga musajjawattu mulamu nga nkumbi.

Frank Mbalire ye kitaawe wa Michael Kyemwa amanyiddwa nga Myco Chris eyayimba Zino ennaku ne Radio and Weasel, kyokka nga Myco Chris kati Musumba mu ggwanga lya Bungereza, ono nnamusisinkana netunyumya bingi nga tuli mu kirabo ky’emmere e Makindye ekimanyiddwa nga Pakalast bweyali azze kuno omwaka 2022.

Myco Chris mufumbo ne muwala wa nnakinku mu mizannyo n’okuyimba Alex Mukulu ng’era omuwala ono ye Gwendolyn Mukulu. Mu bufumbo bwabwe bakulunguddemu emyaka 23, ababiri bano musumba Chris ne Gwendolynn bwebaafumbiriganwa nnafuna essuubi nti tugenda kufunayo bannabitone okuva mu nju ya bwe olw’omusaayi gw’ebitone omukwafu. Era tebanswaza kubanga muwala wabwe Israella Chris gyebuvuddeko yawangula aBangereza mu ngule y’okuyimba eyatuumibwa Voice of the kids UK n’afuna n’emirimu gy’okuyimba ku mbaga eziwerako e Bungereza.

Related posts

Philly Bongoley Lutaaya: The Brave Ugandan Artist Who Fought AIDS Stigma

Ssekanyumiza Amansa Bwino

Sudanese Business Woman and Musician Fresh from Hospital Achai Wiir Bol Puts Buziga Residents at Road Construction Ransom

Ssekanyumiza Amansa Bwino

Deep State Politics: Museveni Has Tripled Kusasira’s Salary To Shs6m in One Year

Dean Lubowa Saava

Meet Franco, A legendary Congolese Singer Who Greatly Influenced Dr. Jose Chameleon

Ssekanyumiza Amansa Bwino

Uganda’s Music Gangs: Government To Clamp Down on Music Gangs Promoting Violence

Dean Lubowa Saava

Ray G Is At Lugogo Cricket Oval Today.

admin

Mike Tyson vs Jake Paul:The Match No One Expected.

Cathy Mirembe

Music, Trust, and Truth What Bebe Cool and Eddy Kenzo’s Stories Tell Us

Dean Lubowa Saava

Jose Chameleone Set for Critical Pancreatic Surgery After Health Scare

Barbra Zeka

Murder of Delcat Idengo A Bold Voice Silenced Amid Congo’s Turmoil

Barbra Zeka

Leave a Comment