Entertainment

ENGERI GOOD LIFE CREW GYEYASAANAWO. WANO MANAGER CHAGGA YALI ASIBIDDWA

Goeffrey Kyagambiddwa muyite Chaggayagayo oba Big Papa nga bweyeeyita ensangi zino, yómu ku ba manager abaasikira Geofrey Kiwanuka amanyiddwa nga Jeff Kiwa.

Ssekibogo Moses Radio bweyali nga tannazaawa, gweyayitanga kitaawe Chagga yali manager kyokka oluva bakkaanya bukuyege azzibwe ebbali olwo mwanamulenzi Emotion Feelings atwale emirimu gino mu maaso.

Radio bweyaserengeta e Kalannamu, Chagga eyali yasoowagana ne Sseguya Daglous eyeeyita Weaselmanizo. Ababiri ano baagenda mu maaso nga bugolo okukakkalabya emirimu gy’endongo wadde oluvannyuma baafuna olukato nebabiwummu.

Mu Kasambula w’omwaka 2018, Godfrey Kyagambiddwa yakwatibwa ku misango gyókuwuwuttanya obukadde bwa ssiringi 19, nga mu musango guno baalimu ne munne Weasel era okuyimbulwa baasooka kukola kakalu akawa obukakafu nti Chagga waakuliwa obukadde bwa kuno 10 ate ye Weasel atanzibwe 9 eri omutegesi w’ebivvulu Kaliba Paul, ensonga ziggwe mu ngeri ya kisajjakikulu Wampisi ky’atuula mu lumbe lwa Wante. amaze nateebwa okuva mu kkomera oluvannyuma lw’okutuuka kunzikiriziganya neyali amusibye nasasulako obukadde 5 ku bukadde e 19 eri Omutegesi w’ebivulu Kaliba Paul. Mukusooka Chagga yasasulako obukadde bwa ssiringi 5 abóbuyinza nebabaleka babimaliririze wabweru.

OLUNAKU LWA GGYO GAABADDE MAZAALIBWA GA CHAGGA, NKWAGALIZA AMAZAALIBWA AG’ESSANYU BIG PAPA. KULIKAYO MU KAWOME EBISEERA EBYO.

Related posts

Meet Franco, A legendary Congolese Singer Who Greatly Influenced Dr. Jose Chameleon

Ssekanyumiza Amansa Bwino

Africa Is Far Richer Than America Though They Have Poor Branding

Dean Lubowa Saava

Tems Takes a Stand Cancels Rwanda Show Amid Escalating DRC Conflict

Barbra Zeka

Fiery Sexy Singer Winnie Nwagi Throws in Towel at Swangz Avenue Amidst Allegations of Moonlight Ring

Dean Lubowa Saava

“Inspired by Museveni”, Bebe Cool takes Zuena off sugar, rice

Cathy Mirembe

ARRESTED: Artist Beenie Gunter Got Arrested In Dubai.

Dean Lubowa Saava

Honoring The Legacy of Shaka Ssali: A Tribute to a Journalistic Icon

Cathy Mirembe

Jose Chameleon Bounces Back After Successful Surgery

Ssekanyumiza Amansa Bwino

Why Afrigo Band Deserves a Talent School Gift for its 50th Anniversary later this Year

Jako

Menton Summer: A Musical Legacy Born of Military Heritage

Ssekanyumiza Amansa Bwino

Leave a Comment