Kyokka wadde yabonerezebwa kino tekyaamumalaamu maanyi, kati bweyalaba nga Universtity eggaddewo omukutu gwaayo naasalawo okukozesa omukisa ogwo okwongera amaanyi mu mukutu gwe gweyali azimbye, kyeyakola yaddira essimu zabayizi banne bonna ku University nabayunga ku mukutu gwe ogwa Facemash nebatandika okuwaanyisiganya obubaka bulungi ddala ngabakozesa kyebayita Edu Email Platform.
Abakulu ku University nabo batandika okukozesa omukutu guno wadde nga mukusooka baali bagulwaanyisa era Zuckenberg yeyongera okufuuka ensonga nga buli omu amutenda obwongo ku University yonna nga buli waayita bamunyeenyeza mutwe, kati kyeyakola yatuula nebanne okwaali Eduardo Saverin, Andrew McCollum, Dustin Moskovitz, ne Chris Hughes abo bwebaali mukutandika omukutu guno, batuula nebateesa okukyuusa erinnya okuva ku Facemash, bonna bakkaanya kimu nga nkuyege omukutu guno bagutuume Facebook.
Erinnya lino baaliggya wa?, Waaliwo akatabo akawebwaanga abayizi abapya abewandisanga ku University eno nga bakayita Face Book, bano bwebatuula awamu nebakwaata ebigambo ebyo ebibiri Face Book nebaigatta wamu nebaggyamu ekigambo Facebook bweebatyo nebalitongoza okuyitibwa omukutu gwaabwe ogwo n’okutuusa olunaku olwaleero wadde nga gyebuvuddeko bakyuusiza erinnya eddala nga bwetuggya okulaba naye abasinga bakyaamanyi Facebook, bwekityo ekigambo Facebook bwekyaggya.
Omukutu guno gwaafuluma mu Havard University negusasaanira amatendekero amalala muggwanga lya Amerika ngabayizi bagukozesa okumanya banaabwe bwebali mukibiina ekimu, okumanya ebinaasomesebwa oba ebyaasomeseddwa nebirala bingi ebiwerako.
Advertisement.
Mu mwaka gumu gwokka Facebook eno yali ewezeza abantu abagikozesa akakadde kalamba okwetoloola ensi yonna, era mu mwaka gwa 2005 yatuuka kumutendera ogwa .com era nebagituuma Facebook.com, mu 2006 wegwatuukira nga buli muntu yenna ali waggulu w’emyaka 13 ngali ku mutimbagano yali asobola okukozesa Facebook.
Tugenda okutuuka mu mwaka ogwo nga ewezeza abantu obukadde 12, mubbanga lyamwaka omulala gumu Facebook yalinya netuuka kubantu obukadde 50 mu 2007, omuwendo guno gweekubisaamu emirundi ebiri mu 2008 kubanga tugenda okuguyingira nga ewezeza abantu obukadde 100 abagikozesa, tugenda okuyingira omwaka 2012 nga eyingidde mubantu akawumbi kalamba 1 Billion Facebook Users era gwemukutu ogwokumutimbagano mubyafaayo ogukyasinze okuddukira kumisinde egyawaggulu ennyo.
Advertisment.
Gugenda okutuuka omwaka 2012 Facebook yali ebalirirwaamu obuwumbi bwa Ddoola 104, werutuukidde olwaleero ku myaka 20 nga abantu obuwumbi busatu beebagikozesa buli mwezi era ekwaata kisooka ku mikutu egikyasinze okwettanirwa okwetoloola ensi yonna, Facebook ekola kimu kyaakubiri kubantu abali ku Internet munsi yonna Worlds Internet Users ate kimu kyaakusatu kubantu abali munsi yonna beebagikozesa.