It’s business unusual, I have decided to jot this down in Luganda language, one of the most prestigious dialects across the divide.
BULI OMU GABANA NE MUNNO ALIPOOTA ENO, EY’OLWALEERO GYENKOZE TOLIDDAMU KUGISANGA WALALA WONNA. KALE SEMBERA KUMPI TWAWULE ABALENZI KU BASAJJA. AMAASO TEEKAKO MMAMBO OLWO YE SSEKANYUMIZA AMANSE BWINO NGA WEYAJJIRA.

Obuganda bwabuna essanyu, Muzzukulu wa Mugema e Bbira. Ow’Enkima Nnaabakyala Sarah Nalule Kisosonkole Omuzaana Kabejja, bweyazaala Kabaka ejjano. Bw’atyo Omuzaana n’afunirawo erinnya Nnabijjano. Lwaki Nabijjano ne Jjano mannya ga nkizo nnyo mu kuzaalibwa kwa Lukomannantawetwa?. Omanyi Kabaka ssebo tamala gazaalika, n’olwekyo omukyala oyo kyeyabanga azadde lyabanga jjano lyennyini butereevu ng’afuukirawo Nnabijjano olw’okuzaala Kabaka ejjano Ronald Fredrick Kimera Mutebi II muzzukulu wa Mugema ey’eddira Enkima.
Mu ddwaliro ly’eggwanga ekkulu ku kasozi Mulago ekisangibwa mu kibuga Kampala. Omuzaana ebisa by’okuzaala Ssebunywa eyo gyebyamusimbira. Nga Enzingu 13 ezzooba lya Kafumuulampawu eddaaza lya 1955.
Omulangira Ssaabataka eyalwedda n’afuuka Ssebunnyabwamusota, munnange yatonnya ku nsi!. Ng’ava mu ntumbwe z’eyali Kabaka w’ekiseera ekyo Sir Edward Fredrick Walugembe Muteesa II wabula ng’aBangereza bo baamuyitanga lya King Freddy. Kitaawe wa Mutebi mu byafaayo bya Uganda eyaawamu ye mukulembeze w’eggwanga eyasooka nga Nnyaffe Uganda yaakafuna ekyatuumibwa obwetwaze mu ddaaza lya 1962.

Ssiikutwale nnyo mu byabufuzi akageri kebiri nti byebyasuula Kabaka Muteesa II ku kawansazi, kambyetegule mu ngeri ya jjanzi ku mukazi muzadde, nneme kweyagaagula ng’azinira mu ky’ebikkwa nti bwekinaapasuka toosule bugulebe!!.
Nga nnabe amaze okugwawo, emberebezi ezaleetebwa Kawenkene Obote bweyamegga ate n’aluma mu. Okukolera Kabaka Muteesa II omupango n’amutega omugaati ogwalimu obulukuumi mu buwanganguse ku mawanga gyeyali mu zzooba lya Museenene nga 21 eddaaza lya 1966, bino okubaawo nga nnyina w’omulangira Dawudi Kintu Wasajja asulirira kuzaala era yali mu mu Lubiri e Mengo.
Bino ssaagala kubizza olw’ennyiike ebifumbekeddemu so ng’ate tuli mu biro bya ssanyu olw’emisinde mubuna byalo egy’amazaalibwa ga Sserwatikalwattaka ag’emyaka 66 egy’okuyuuguuma ng’ate gwe mwezi omuli n’amatikkira ku mutala Nnaggalabi.
Njagala ojjukire nti Matumpaggwa ayuuguumye okukira ba Jajjaabe bonna abaamusooka ku Nnamulondo, Kisiikirizekyakatonda wangaala osukkewo Ayi Beene. Ppemenku Lukeberwa Omutyogubalensimbi, okukisa omukono kwa kitaawe okubaawo nga 21 Museenene 1969, Omulangira Mutebi naye yali Bungereza, yalina okuteekebwateekebwa ba fa nfe ba kitaawe okwali Ronnie Owen ne Richard Garr-Gomm.

Obubaka buno bwetikkibwa eyali mukuumaddamula w’ekiseera ekyo, Katikkiro Jowash Ssibakyalyawo Mayanja Nkangi nga kaakano mugenzi. Ono ky’afaanaganya ku Katikkiro Mayiga alina Ddamula olwaleero, bombi b’eddira Mutima basibuka Bbaale. Munnange Obuganda bwagaana okukkiriza nti Kabaka Muteesa II mukwano gw’abangi, yali akisizza omukono okutuusa omusebeyiwe Mayanja Nkangi bweyavaayo n’asasaanya amawulire ag’ennaku eri Obuganda.
Nkangi bweyakawanngamula, Obuganda bwannyogoga nga buli omu alinga akubiddwako nnavooto anti nga beewunise okukira abakyawe. Abayimbi ennyimba baakooloobya okusobola okubikira Obuganda, nayenga ssebo mu kadde ako okusuuta Kabaka okira awemudde. Kyokka olwomukwano gwa Kabaka, muzzukulu wa Gabunga Dan Mugula yamira ensanafu n’akooka wakati mu bunkenke bw’okutya okutogozebwa basajja ba Kawenkene.
Oluvannyuma Kawenke Obote, Ssaalongo Idd Amin Dada Nyabire Oume. Yateeka Obote mu kingaangaali n’alindiggula eri ng’ekijolya. Okukkakkana nga ssi ye mukulembeze w’eggwanga. Era oluvannyuma lw’emyaka ebiri (2) nga Ssekabaka akisizza omukono. Enjole ye yazzibwa kuno mu ddaaza lya 1971 n’eyolekera mu masiro e Kasubi.

Emiranga gyatemwa buto, Obuganda bwebwaddizibwa enjole ya Ssaabafumbo eyali amaze okufuuka Ssekabaka anti Kabaka bw’aggya omukono mu kibya afuuka Ssekabaka, kubanga bulijjo n’ekimanje bwekita ebadde ensuwa efuuka luggyo, nga tekyayinza kuddamu kufuuka nsuwa nate. Henry Kyemba, eyali ssaabawandiisi ow’enkalakkalira mu kkakkalabizo ly’omukulembeze w’eggwanga, yeeyatwala obuvunaanyizibwa ku nteekateeka y’okutereka enjole ya Ssekabaka mu masiro. Tosaanye kwerabira nti Obote okulumba Muteesa, yayita mu musajja we Idd Amin Dada eyali omuduumizi w’amagye ge, nga n’Amin okufuna ekifo kino kyaddirira Brigadier Shaban Oporoti eyali agaduumira okugaana ebirayiro bya Obote okulumba Muteesa era Oporoti yaggalirwa e Luzira Obote n’akuza Amin n’amutuma yekebekkebe eddimu.
Mu ddaame lya Ssekabaka Muteesa e lyasembayo agamba nti
”okusooka mu byonna, nnaamidde omwanawange Ronald Fredrick Kimera Mutebi II obusika bwange, gwempadde okusikira omutuba gwange”.

Ssabataka Omulangira w’Engoma Mutebi, yaleetebwa okuva e Bungereza akole omukolo ogusinga obukulu. Omukolo gwentegeeza, kwekubikka akabugo mu bwenyi bwa Kabaka akisizza omukono. Omukolo guno gukolebwa Omulangira abeera alindiridde okulya engoma. Olukusa lwalina kusabwa mukulembeze w’eggwanga Idd Amin, mu bigambo by’Amin yabuuza omuyambiwe Abas nti ”Omukolo gw’omwana okubikka kitaawe akabugo mu maaso kyali kyakuzuukiza kitaawe?” naye oluvannyuma yakkiriza emikolo gikolebwe.
Wabula, olwokutya nti gavumenti yali yaakuteebereza nti obwaKabaka obwali bwawerwa Obote bukomyewo, abateesiteesi batya okutta omukwano wakati wa Buganda ne Amin anti kyali kyangu okubateebereza okumuyeekera. N’olwekyo obulombolombo obuggyayo amakulu g’omukolo guno obumu tebwakolwa, gamba ng’Omulangira alidde engoma okulamusa ku mulangira Mujaguzo atudde mu Lubiri lwe e Kabowa. Omukolo guno baagwesulubabba nga nnasswi ku ngalabi.
Kino kirina okukolwa okutegeeza Obuganda nti bufunye Omulangira omuggya, baabuwe guno gwafuuka musu gw’e kanyanya nebabimma amazzi bisiriire wakati mu nnyiike gyebaalina.
Omulangira Mutebi yawa Obuganda essuubi, wammaggwe ng’amema nga kitaawe yennyini. Omanyi kitaawe yali musajja mugogofu nga mwambazi nnyo. Obuganda bwafuna ekikubagizo, emikolo bwegyaggwa Ssaabataka n’addayo ku mawanga, okutuusa jjo ly’abalamu bw’akomezeddwawo omuyeekera Museveni, gweyayamba ennyo mu kumatiuza oBuganda bukekeze ennyabo e luweero awo, basajja ba Lutwa bafuuke lufumo abaali bafunze ekyonga.
”Nkuwadde omwanawange Mutebi ogendenaye endayiga omulabirire akulire eyo”. Ebyo byali bigambo bya Ssekabaka Muteesa ng’awaayo mutabaniwe Mutebi atwalibwe okwolebwa anti Kabaka takulira mu lubiri. Naye abaffe yabigamba ani??. Awo wengenda okutandikira okumansa omuluindi omulala.

Olunaku lwa nkya ng’enzingu 13 zetunaabeera tutolontose mu Kafummuulampawu Eddaaza lya 2025, Ppemmenku ajjakuba aweza 70 egy’okuyuuguuma wadde ng’abangi bagiyita gya buto ekintu ekikyamu ennyo. Kabaka takula mu myaka nga bantu balala wabula okukula kwe kuyitibwa kuyuuguuma (Takula Ayuuguuma). Ku mulundi guno ekibya kinaabula omukombi, anti Omujaguza waakubeerawo mu buliwo oluvannyuma lwokussuuka ebimbe ebibadde bimubala embiriizi. Tusaanye tumanye nti Kabaka talwala, ekikolwa ky’okulwala ku Kabaka kubeera kuddugala (Talwala Addugala), nebwetunaaba tutuuse mu kiseera kiri mwattira Ente n’agabula Obuganda, ye talya ng’abantu abalala bwebasereekereza ekitaggumira, okuwunya ku gwa ddyo oba okussa awatali ggumba. Ekikolwa ky’okulya kwa Kabaka kiyitibwa okugwa mu bibbo (Talya Agwa mu bibbo).
MAZIMA DDALA BUGANDA GWEMUTIMA GWA UGANDA…..
WANGAALA NNYO BBAFFE, EKIFUNDIKWA KYAFFE EKY’OBUSIKA N’ENNONO, KALEMAKANSINJO SSEMANDA CUUCU MAASOMOGYI SSEBUWUFU KALIBAKANGO NNANTAKUBWABWAMI KIWAMIREMBE SSEKKESA SSEMPEEBWA MPALABWA BUKAAJUMBE NNYANJATEMANYIIRWA MUSISI NNAMUNSWAMUGEMA MUZAAWULA MULYAZZAAWO KALALANKOMA NNANTAWUUNWA NNYINIMU LUKOMANNANTAWETWA NNANTAKYAYIKA MWENNYANGO.
EBIKIRA KU BINO MU LULIMI OLULASANGEYE LUYITE OLUGANDA, OGENDA KUBA OBIGGYA WANO KU TV10, KAVUNA WEEKUUMIRA KUNO ENTABIRO Y’OKUMANYISIBWA ATE N’OKWOGIWAZIBWA.