EntertainmentOpinions & Blogs in Features NewsToday In HistoryTop Story

GIWEZE 25 BUKYA BEBE COOL ALEETA ”ABIRI MU BBANGA ASATU KU NNYAMA” BUCHAMAN OKUVA E KENYA N’AMUSUULIRA BOBI WINE

Emboozi ku ngeri Mark Bugembe eyali Buju mu myaka gya kyenda (90s) kati Buchaman bw’azze apangamu obulamu.

OmuziraMbogo ono muzzukulu wa Kyoto Kiwutta Makumbi Kayiira Gajuule, asibuka Kyaggwe ng’era family ye emanyiddwa nnyo mu kutema ennyama mweyaggya n’erinnya lya Butcherman. Olw’okubeera ow’eMbogo, Kyagulanyi n’amukwasa mutabani we olw’okusoomoozebwa kwalina okwobulemu. Kankuzzeeyo ku mboozi byonna gyebyatandikira, mbiyitemu olukwakwayo emmandwa lw’eyita mu bikajjo.

Bebe Banton omuyimbi wa Firebase 🔥 enkadde, bw’awuuba olubu lw’ekigere anoonye ku munywanyi we Ragaman Jose eyali yagendera mu bus corridor za Mawingo e Kenya yeesibe ku Ogopa Deejays bamukolere ennyimba. Gy’asanga n’omulema eyali yeeyiiya ng’enjogera y’ennaku zino ng’ageegenya omuyimbi Bebe Banton gweyeegomba nga ennyo Buju Banton ow’e Jamaica.

Kino kyabagatta nnyo kubanga bombiriri ekirooto kyabwe kyali kubeera Buju Banton. Bebe Cool asitula Buchaman amuleeta kuno ng’amusomeddemu nti nnina munnange e Kamwokya alina embeera z’ekibanda ennyo nga ggwe, nkimanyi mujjakukwatagana.

Kinajjukirwa nti Bebe yali akyawangaalira wa Ssengaawe awo ku White Flats e Bukoto gyeyazaalira ne Allan Byarugaba muyite omuyimbi Hendrix. Kwekugamba nti embeera za Bebe zaali tezigwa mu ghetto yut Buchaman akageri keyaliko amafuta ga minisita kitaawe Hajji Jaberi Bidandi Sali. Kati bw’amutuusa amuwa Bobi Rob kyokka oluvannyuma vaamubuusa nti Bob ye Rob ekitgeeza nti okola ekiyitibwa repetition kwekukyusa n’afuuka Bobi Wine.

Buchaman yasanyuka nnyo okusisinkana enkambi eyali emufaanana, nga yonna yakubwa bitya!. Mwalimu Black Boy, Toolman Kibalama, David Ssifaayo muyite Master Parrot ob Kittante, Nana, Alusa Lover Dee, Thunderman, Weatherman, Dizzy Nuts, Bobi Rob n’abalala njolo kubanga y’enkambi eyali esuza buli mulenzi w’esswagga e Kampala. Kasita yabanga ng’amanyi okugakumamu .

YE LWAKI SSIKUWUMMULIZAAMU KO WANO OMALIRIZE OKUWEERA?!.

ANTI EKITUNDU EKY’OKUBIRI NKITEMEDDE EMPANGI KWENNAASINZIIRA OKUKWAZZA KIDIMA KINNAWADDA.

YENZE SSEKANYUMIZA AMANSA BWINO

#ssekanyumizastories

Related posts

TODAY IN HISTORY: THE INAUGURATION OF FORMER U.S.A PRESIDENT “BARAKA OBAMA”

Cathy Mirembe

USD20M Heist Rocks Bank of Uganda: General Museveni Recovers USD8M, but USD12M Remains Unaccounted

Dean Lubowa Saava

Historic Day: All Saints Cathedral Dedicated, Ven. Baalwa Enthroned

Dean Lubowa Saava

Nup’S Ticket To Replace Ssegirinya In Kawempe By-Election Is For Sale

Dean Lubowa Saava

Faridah Nambi Isn’t Backing Down Vows to Win Kawempe North in 2026

Barbra Zeka

Kenyan Protestors Clash with Police Over Rising Cost of Living

Cathy Mirembe

Bobi Wine Rebukes Museveni Over Kawempe North Rigging Claims

Barbra Zeka

Tensions Ease? Gen Muhoozi to Join Museveni-US Ambassador Talks

Dean Lubowa Saava

Who is the founder of Fatah Organization  in Palestine

Ssekanyumiza Amansa Bwino

Battle Lines Drawn: TV10 Dares UCC to Revoke License, Threatens Court Action Over Under Siege Of Media Freedom.

Dean Lubowa Saava

Leave a Comment