Business & Technology NewsOpinions & Blogs in Features News

Obubbi Bwa Kakira Sugar Works Limited Buli Kudaala Lyawagugulu.

Aba Kakira Sugar works limited abamanyidwa nga Kakira sugar works bano jebakomye okweyitta nga abakulembera kampani zona mu’uganda ezikola sukaali omulunj awooma ate nga anogga mbu , jebakomezza obubbi oba obukumpanya mu kutunda sukaali waabwe.

Bano ekintu bankyongeramu era gwe wena muna Uganda nga obadde oli kasitoma wabwe nga totwaala nga budde kupima mu sukaali gwe bakuguziza newesiga minzaani zaabwe , manya amagoba gakuffa dda ,gwe buzinessi tewali.

Kino kiviridde ku musubuuzi omu eyabadde aguzze esawo za sukaali wabwe mubunji , okwenkengera bwatyo nazipima ku mizaani ye jakozessa mu duuka lye okusobola okukakasa oba nga sukaali ono ajja nga mupime mu bipimo byakiro ataano {50kgs} dala awera bulunji .

Naye kyamubuseeko nga buli nsawo ya sukaali jateeka kumizaani ebala birala nyo kubyo byeebawandiika ka kutiya kabwee era tewali kasawo kubweyabadde apima kagezezaako wadde kutuuka mu kiro anaa mumwenda {49kgs} , obusinga bwabadde mu kiro anaa mumusaavu{47kgs}, anaa mumunaana {48kgs} nobutundu obugwaamu.

Mizaani entuufu nga empima sukaali wa Kakira owa kiro ataano [50kgs}.

Kino ekyamizaani ezitawera , kiri kumpi mubulikimu ekipimibwa ,nga tutwalideemu abamaduuka wakuba nti ate bo abatunzi benyama bakyasinze kuba ate abamu kubbo bayina ne mizaani ezipima enyama ewela ne’tawela nga era gwe singa oba muguzi mupya ,ogwa mumbi zaabwe kuba mizaani epima enyaama etawera eyawukanako ne’yakasitoma waabwe owa deyire , baba bakimanyi nti gwe oli muyise ate tojja kufuna budde bumanya nti ewezze oba teyawezze kale awo abawooteeli bo webafuniramu enyo okusingako kugwe agula kilo entono.

Ekisinga okwewunyisa mubyona nti ebintu webiberedde mubuseere ate abakozessa mizaani webasinze okubbira omuguzi , olwo nebafunamu nyo nga gwe aguze tofunyeemu kuba edda wagula nga koota yenyama nelibwa abantu abana [4} kati noomu temukyamukussa ,ate oyo sukaali talojeka kuba nokunoga takyanogga ate nga tawera.

Awo omunanaansi wenkulabulira nti bera mulabuffu, sibuli kyosanze bapimye edda nga bawandiiseeko nti kiba kiwera .

Advertisment

Related posts

Museveni Launches The First Islamic Bank In Uganda.

Dean Lubowa Saava

The New ICT Guidelines.

admin

GO BACK TO SCHOOL : The Hiking Of Scholastic Materials.

Dean Lubowa Saava

Leave a Comment