Business & Technology NewsRegional News

FACEBOOK : Ekitundu Ekyo Okubiri Ku Byafaayo Bya Facebook.

Kyokka wadde yabonerezebwa kino tekyaamumalaamu maanyi, kati bweyalaba nga Universtity eggaddewo omukutu gwaayo naasalawo okukozesa omukisa ogwo okwongera amaanyi mu mukutu gwe gweyali azimbye, kyeyakola yaddira essimu zabayizi banne bonna ku University nabayunga ku mukutu gwe ogwa Facemash nebatandika okuwaanyisiganya obubaka bulungi ddala ngabakozesa kyebayita Edu Email Platform.

Abakulu ku University nabo batandika okukozesa omukutu guno wadde nga mukusooka baali bagulwaanyisa era Zuckenberg yeyongera okufuuka ensonga nga buli omu amutenda obwongo ku University yonna nga buli waayita bamunyeenyeza mutwe, kati kyeyakola yatuula nebanne okwaali  Eduardo SaverinAndrew McCollumDustin Moskovitz, ne Chris Hughes abo bwebaali mukutandika omukutu guno, batuula nebateesa okukyuusa erinnya okuva ku Facemash, bonna bakkaanya kimu nga nkuyege omukutu guno bagutuume Facebook.

Erinnya lino baaliggya wa?, Waaliwo akatabo akawebwaanga abayizi abapya abewandisanga ku University eno nga bakayita Face Book, bano bwebatuula awamu nebakwaata ebigambo ebyo ebibiri Face Book nebaigatta wamu nebaggyamu ekigambo Facebook bweebatyo nebalitongoza okuyitibwa omukutu gwaabwe ogwo n’okutuusa olunaku olwaleero wadde nga gyebuvuddeko bakyuusiza erinnya eddala nga bwetuggya okulaba naye abasinga bakyaamanyi Facebook, bwekityo ekigambo Facebook bwekyaggya.

Omukutu guno gwaafuluma mu Havard University negusasaanira amatendekero amalala muggwanga lya Amerika ngabayizi bagukozesa okumanya banaabwe bwebali mukibiina ekimu, okumanya ebinaasomesebwa oba ebyaasomeseddwa nebirala bingi ebiwerako.

Advertisement.

Mu mwaka gumu gwokka Facebook eno yali ewezeza abantu abagikozesa akakadde kalamba okwetoloola ensi yonna, era mu mwaka gwa 2005 yatuuka kumutendera ogwa .com era nebagituuma  Facebook.com, mu 2006 wegwatuukira nga buli muntu yenna ali waggulu w’emyaka 13 ngali ku mutimbagano yali asobola okukozesa Facebook.

Tugenda okutuuka mu mwaka ogwo nga ewezeza abantu obukadde 12, mubbanga lyamwaka omulala gumu Facebook yalinya netuuka kubantu obukadde 50 mu 2007, omuwendo guno gweekubisaamu emirundi ebiri mu 2008 kubanga tugenda okuguyingira nga ewezeza abantu obukadde 100 abagikozesa, tugenda okuyingira omwaka 2012 nga eyingidde mubantu akawumbi kalamba 1 Billion Facebook Users era gwemukutu ogwokumutimbagano mubyafaayo ogukyasinze okuddukira kumisinde egyawaggulu ennyo.

Advertisment.

Gugenda okutuuka omwaka 2012 Facebook yali ebalirirwaamu obuwumbi bwa Ddoola 104, werutuukidde olwaleero ku myaka 20 nga abantu obuwumbi busatu beebagikozesa buli mwezi era ekwaata kisooka ku mikutu egikyasinze okwettanirwa okwetoloola ensi yonna, Facebook ekola kimu kyaakubiri kubantu abali ku Internet munsi yonna Worlds Internet Users ate kimu kyaakusatu kubantu abali munsi yonna beebagikozesa.

Related posts

NEMA Halts The Degradation Of Nakiyanja Wetland.

Dean Lubowa Saava

Museveni’s South Sudan Trip Ends with Call for Peace

Dean Lubowa Saava

Parliament’s Deputy Speaker’s Lavish Palace Raises Concerns About Misuse Of Public Funds.

admin

Ethiopia president replaced after falling out with PM

ndiwalanakiwa@gmail.com

Egyptian warship delivers more arms to Somalia

ndiwalanakiwa@gmail.com

Parliament Sittings in Gulu Spark Controversy and Calls for Reform

Cathy Mirembe

Uganda’s Aviation Boom: Entebbe Airport Sees Significant Growth in Passenger Traffic

Cathy Mirembe

Are You The Appointing Officer To Fire My Permanent Secretaries? M7 Tasks Ggoobi And Former State House Boss To Narrates How Gov’t Lost Billions After Mafias Forged M7 Signature

Dean Lubowa Saava

New Horizons: Uganda Airlines Launches Gatwick Route

Ssekanyumiza Amansa Bwino

OPINION: A Glimpse In The Presidential Bid Of The Patriotic League Of Uganda.

admin

Leave a Comment