Business & Technology NewsRegional News

OMUTIMBAGANO: Facebook Yajaguza Emyaka 20 Bukya Etandikibwawo.

Nga ennaku z’omwezi 4th omwezi ogwokubiri omwaka gwa 2004 eyali omulenzi omuto embulakalevu ow’emyaka 19 gyokka lweyayingira mubyafaayo, ono yatandika nga asaaga kyokka olwaleero afuuse ensonga okwetoloola ensi yonna.

Wano twoogera ku musajja mukulu ono kati Mark Zurkenberg ono yemutandisi w’omukutu ogw’omutimbagano oguwambye obwengula bwensi yonna ogwa Facebook, olwaleero nga 4th ogwokubiri 2024 Facebook lweewezeza emyaka 20 nga ekozesebwa abato nabakulu okwetoloola ensi yonna.

Kyamakulu nnyo munna Uganda bino okubimanya kubanga bangi tukozesa omukutu guno naye tetumanyi byafaayo byaagwo, olwengeri gyengoberera ennyo ebyafaayo wamu neebiriwo mukiseera kino era nga omuntu anoonyereza ennyo nkirabye nga kisaanidde ngabane naawe ebyafaayo bino, wamu nebikwaata ku Faceebook ate mungeri yeemu ffembi tufunemu ebyokuyiga mu bulamu bwaffe.

Okusinziira kubyafaayo, Mark Zuckenberg yali muyizzi ku Havard University esangibwa e Cambirdge Massecussetis muggwanga lya America eyatandikibwaawo mu mwaka gwa 1636 nga mukiseera ekyo yali eyitibwa Havard College.

Kano Kalango.

Mu mwaka gwa 2004 Mark Zuckenberg yakulemberamu banne bwebaali mukibiina ekimu batandikawo omukutu ogw’omutimbagano Social Network Platform ogubagatta awamu ng’abayizi basobole okuba nga bawuliziganya nga basinziira kumasimu gaabwe buli omu wabeera.

Mu kusooka Zuckenberg yalina omukutu gweyali atandiseewo gweyatuuma Facemash oba Hot or Not, ku mukutu guno Zuckenberg yagukozesanga okwoolesa abawala abalungi ku University eno nga ateekayo ebifaananyi byaabwe olwo banne nebatandika okubawandiikako okusinziira kundabika yaabuli gwaataddeyo.

Kano Kalango.

Kati okusobola okufuna ebifaananyi byabayizi abawala bano yakozesanga amagezi ageekikugu nayingira munda mu mukutu gwa University omutongole mu bubba natandika okuggyayo ebifaananyi byaayagala ngabakulira University tebalina kyebamanyi, Kino kyaawaliriza University okuggala omukutu gwaayo guno era Zuckenberg naabonerezebwa olw’ekikolwa ekya Hacking kyeyakola.

Lindilila Ekitundu Ekyo Okubiri.

Related posts

UEDCL’s Shs267.5 Billion Investment Plan Targets National Grid Overhaul, 225,000 New Connections

Barbra Zeka

Uganda Made More Economic Ties With China To Support EACOP Project

Dean Lubowa Saava

Museveni Urges African Self-Reliance at ARFSD-11 Forum

Barbra Zeka

Eng. Richard Matsiko Appointed Acting CEO of UETCL as Karamagi Steps Down

Barbra Zeka

VAR Scandal: Official Suspended for Browsing Betting Site on Live TV

Ssekanyumiza Amansa Bwino

Uganda’s Automated Traffic Fine System A Revenue Trap or Safety Measure

Barbra Zeka

The Origins Of The Cesarean Section (C-Section).

Cathy Mirembe

COMING SOON

admin

King Oyo IV Has Appointed New Prime Minister

Ssekanyumiza Amansa Bwino

The Electoral Commission Voter’s Register Display: A Crucial Step in Uganda’s Democratic Process

Cathy Mirembe

Leave a Comment