Regional and World News

LWAKI UGANDA YALEERO YEKOKKOLWA.

Wenjogerera embeera eriwo mu Uganda yattu tekyawomesa nakabululu. Anti bulyoomu ajitenda lulwe ate abamu bajiwanda lulussu , kuba bweyokya omulala sibweyisa omundi.

Edda nzijukira eyo mu mwaaka gwa bbiri gumu (2001) nga bansindika kuduuka ne’nusu lukumi lumu lwoka nenvaayo ne’bintu ebyegasa. ye nkunyumizeeki ndekeki kuba ebintu

Ate lwo olwataano, byerwagula, nga toyinza nakukiriza woba nga tewalukozesako so lwaweebwanga nyo abayizi okutwala kusomero era nga eyaba alulina nga yali tagambwaako nga enjogera yenaku zino. Ye nga ate welugwa mu mikono jo’omwaana owefujjo, akyokooza bane nakatagga, nga bwa abalangira,nga bwajja okubawa eza akawunga. Kyamukisa mubi nyo nti omwana eyazalibwa mu bbiri musanvu (2007) ayinza okuba nga talulabangako nga aluwulira mu mboozi

Gwe ataliwo nzikiriza nkunyumizze bwe tweyagalira ku lwataano lwaffe olutakyaliwo nga nabaluyina balukozesa munsonga za kinansi ate wama gwe eyaliwo nga era walukozesaako jangu twejukanye.

Olwataano (50 shillings) aha, lwali lwamanyi nyo kuba lwagula nga binji. Ebimu ku byo byebino wamanga ;

  • Ekibiriiti.
  • Ejiritta.
  • Empango ye’kikajjo kati jo tasobola nakufuna wadde ku bitaano (500 shillings).
  • Emberenge kati eziri ku lukumi (1000 shillings) nga nakaveera kakitundu.
  • Zikabalagala nga nnya (4) ffe twaziyita nga mbaddu ebisera ebyo abamu embulugunya abandi paani.
  • Obungoddi nga butaano (5) abomulembe guno bwe bayita obunyanda nebirala binji.

Mu mwaaka gwa bbiri etaano (2005) okudda wansi ebiseera ebyo wooba osobola okunjulira nga waliwo, amazima sente zali zeyagaza naye kati bulyoomu Uganda emujojobya lulwe ate mu ngeri ezenjawulo okuli ( Ebyenkatika byomanyi ng’ebyendya , ebyenjigiriza, emirimu, ebyensula saako ne’byo obulamu).

Oyinza okuba nga awo woli , Uganda eyalero jetulimu nga olowooza ojimanyi, nze ngamba waliwo byotamanyi, obadde okimanyi nti tuli munsi yaffe jebagamba nti zaabu naye nga mwemuli abanansi nga nekyokulya kibula nebajisula ate nebajisiiba enjala.

Kano Kalango.

Awokusula nga wakweyiya nga kasita omuntu afuna wa yegeka oluba, jebukelela tamanya, adamu buzzi kuyiriba. Olwo nga alwadde oba omwanawe, akasente kabula akamutwaala mu dwaliro eritegeregekeka, ekivirideko abanji okufiirwa obulamu nga ne bwebaba ba dukidde mu malwariro ga Government mpaawo kyebajayo okujjako okusindikiribwa nga nokuyambibwa tebayambidwa nga ekinene enyo kyebajayo kwekubawandikira obuwandisi endagala ate ne baligulea ebweru mu zi pharmacy, kati webuuze abantu abali mu mbeera bwetyo, bayinza kuberawo batya mu Uganda eno eyakati .

Edda obulimi no’bulunzi bwayamba nga nyo oyo eyabanga abwetanidde ate ekitariiwo esanji zino, kuba bwogerageranya obwedda no’buliwo, amaanyi gakuggwa , luli basobola nga okubaako kyebekolera mu kasente akatoono akabaweebwanga nga batuunze nekabaako kyekakola kuba kali kakyalimu omuwendo ate ekitaliiwo kati. Okutangaazaamu ko, ebiseera biri, endebe ye’mwanyi nawankubadde kati bazipimira mu mabbaafu nekumizaanii enzibi, bakadde baffe bajintunda nga enkumi taano(5000 shillings) naye nezisobola okumala ebyetaago byaabwe okwalinga ne school fees , kyoka kati eri ku mitwaalo ebiri(20,000 shillings) naye zisobola gula sukaali na sabuuni no’buntu obutategerekeka.

Omunansi agendewa dala, buli kimu kyabuseere ngo’luyimba lwa “Bobi wine” kuba ebeeyi bweyambuka, tewali kidamu kuka wansi. Jebyambukila, jebisigalira.

Kano Kalango.

kale omuntu atayina mulimo gumusasula bulunji oba business, atuuse obutamalaako mu mbiseera bino ne ebijja kuba obuddukiro tewali.

Abavunanyizibwa ku nsonga ezitwaala engwanga mu maaso besulirayo gwanagamba kati twadda kubya buly’omu waali asabire mune .

Enguzi eringa nguzi , buli kimu ekirunji kyafuuka kyaani akumanyi, ani akusindise oba okufunya ekikonde (Enguzi), eyo yembeera yensanji zino jetutambuliramu. Wano abaana banji abasomye nebawunzika nga bafulumye okugenda kubyeeyo okuyiiya ekigulira magala eddiba, ekivirako nabamu okuluguliramu obulamu. Ebiriwo tebigwa malojja, kaneme kubeera lutakome. Tunatandikirawo olulala.

OLOWOOZA OMUNTU AKOLE ATYA OKUSOBOLA OKUMALAKO MU UGANDA YALERO?

Related posts

Top 10 Worst – Governed Countries In Africa 2024: Mauritius Tops The Chart.

Tusiime Scovia

South Africa Set For Coalition Government After ANC Fails To Garner Majority

Dean Lubowa Saava

SPORTS: Arsenal Nets In Five (5) Goals Against Burnley.

Dean Lubowa Saava

Leave a Comment